Search Any Song, Video, Artist in the Box Below
Abakulisitaayo banji bagamba nti baagala okwogera ebyeddiini nabatali bakulisitaayo naye emboozi zino tebazifuna okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa Evangelism Explosion ne ba Lifeway.
Okusingira ddala nga tusinziira mu kunonyereza kyazuuliddwa nti wakati ng’abakulisitaayo baagala okusisinkana bakulisitaayo banaabwe, batono nnyo ku bakkiriza mu myezi mukaaga ejiyise ababuulidde enjiri olw’ensonga nti bawulira sibeetegefu okubuulira.
“Banji ku bakulisitaayo bagamba nti bakkiriziganya n’okubuulira enjiri era kyamugaso naye banji era betaaga okuzaamu amanyi n’okulagibwa engeri jebabuuliramu enjiri ya Yesu Kulisitu eri abalala” Scott McConnell, atwala ekibiina kya Lifeway Research bwategeeza
Okunonyereza kwasinzidde ku byaddiddwamu abantu okuva ku omu(1) ku kikumu(100) abamerica abakulu abannyonyodde, kiraga nti kyenda mu Ssatu ku kikumi(100%) ebyaddidwamu balina obwetaavu bwokufuna okwogera kw’enzikiriza n’emikwano, kinaana ku kikumi(80%) ku bbyo baagala okubuulira enjiri n’abantu abapya. Ate babiri ku basatu bbo basabira nnyo ab’ennganda nab’emikwano okulokoka.
Ebirala ebyavudde mu kunoonyereza:
• 53% Basobola okugabana okukkiriza kwabwe nabatali bakilisitu.
• 40% Baayogera nabantu abapya ku kukkiriza kwabwe
• 36% Baagabana ebyawandiikibwa oba emboozi za bayibuli nabatali bakulisitaayo.
• 46% Baagabana ebyawandiikiba bya bayibuli oba emboozi ne famile z’abatali bakkilizza.
• 38% Babuulira engeri y’okufuukamu omukulisitaayo nabo abatali bakkiriza n’abemikwano
• 30% Baabuulira engeri yokufuukamu okulisitaayo nabatakkiriza nga bagenyi.
Evangelism Explosion y’omusomo gwa Lifeway Research gwalaga nti atano mu om uku kikumi (51%) abamerica nga ogaseeko nkaaga ku kikumi(60%) ku bakkiriza beebuuza lwaki abantu bekwasizza nyo ku kukkiriza kwabwe. Ate Nkaaga mu mukaaga ku kikumi(66%) bbo baategeezezza nti bbo basobola okwogera ku bukulisitaayo n’emikwano jaabwe.
Ate mu nkumi bbiri mu abiri u ebiri okunoonyereza kwalaga nti ng’ojeeko okwagala okugaba okukkiriza, abakuguse mu bukulisitaayo balaga baabula mu kumanya engeri y’okugabana oba okubuulira enjiri.